United Forces of Change balangiridde okusimba ebimera nga ebitooke, mu binnya ebiri mu nguudo za Kampala.

Bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya wansi w’ekisinde ki United Forces of Change balangiridde okutandika n’olwokuna wiiki eno bagenda kusimba ebimera omuli ebitooke, amayuuni, lumonde kwossa okulundira eby’ennyanja mu binnya byonna ebiri mu nguudo za Kampala n’okwetoloola eggwanga lyonna eyaliko omubaka wa palamenti era nga eyakulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza ategeezezza nti kino bakikoze okwewala ebinnya bino okuvaamu obulabe omuli ensiri okuzaaliramu ng’ate n’amalwaliro agalina okujjanjaba bannansi temuli ddagala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *