Mu mwezi gwa October omwaka guno 2023,
H.E Joe Biden nga yemukulembeze w’eggwanga lya America,yawandiikira Sipiika wa palamenti ya America ento,nga agitegeeza nti gavumenti ye yakugoba Uganda mu katale ka AGOA okutandika n’omwaka ogujja ogwa 2024 olw’okulemererwa okussa ekitiibwa mu ddembe ly’abantu n’addala w’ekijja ku nsonga z’ebyobufuzi.
Mukaseera kano Gavumenti ya Uganda esindise ekibinja ky’abakungu baayo nga bakulembeddwamu Owekitiibwa Odrek Rwabwogo nga ono yemukodomi wa pulesidenti museveni okugenda okwegayirira gavumenti ya America okusazaamu enteekateeka y’okugoba Uganda mu katale ka AGOA.
Kinajjukilwa nti mu week emu gyetwakakuba emabega pulesidenti museveni yagambye nga bwatalina kyeyetaaza America nti era bwagendayo, abeera abayamba buyambi okugendayo..