Ababaka ba Palamenti ku ludda oluwabuzi balayidde obutadda muntula za Palamenti okutuusa nga Gavumenti evuddeyo nebetondera wamu n’okukakasa nga bwegenda okukomya okubatulugunnya n’ebikolwa ebyetima ebibatusibwako abakumaddembe.Bano bakulembeddwamu akulira o ludda oluwabuzi owekitibwa Mathias mpuuga, Hon Joel Ssenyonyi n’abalala, kino kiletedde omumyuka w’omukubiliza wa Palamenti Thomas Tayebwa okusaba Sabaminisita Robinah Nabbanja aveyo ayanukule kubigambibwa nti ababaka bano batulugunyizibwa.