Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga,alekulidde wamu n’akakiiko ke konna.

Omulamuzi Simon Byabakama nga Ono yebadde Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga, alekulidde wamu n’akakiiko ke konna oluvannyuma lw’ekisanja kye ekyamuweebwa nga 18 November 2016 okuggwako mu mwaka guno 2024 nga kati ekilindiriddwa ye pulesidenti Yoweri Kaguta Museveni okulaba oba amwongera ekisanja oba analonda sentence omugya. Omulamuzi Byabakama yaddira enginiya Badru Kiggundu Mubigere eyali amazeko ebisanja bye bibiri gye myaka 14.

Mubuffu obwo Akakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka kayimirizza okwekeneenya embalirira y’akakiiko k’ebyokulonda ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 oluvannyuma lw’abakulu ababadde bakulembera akakiiko ke by’okulonda okuva mu ofiisi era nebatalabikako eri akakiiko kano olwaleero nga kino kivudde kukuba nti ekisanja kyabwe kyaweddeko mu mwezi guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *