Sir Bobby Charlton afudde ku myaka 86.

Omusambi wabungereza nakinku mukukyanga akapiira Sir Bobby Charlton afudde ku myaka 86,ono yaliko emunyenye ya Manchester United ku myaka 17 era yabawangulirako ebikopo bya liggi 3,European Cup ne FA Cup, kyoka nga ne ggwanga lye erya bungereza linamujjukiranga mu world Cup ya 1966 mukisawe kya Wembley Stadium bwe yawangulira bungereza ekikopo ekyasooka akya world cup,bungereza yagisambira emipiira egiwera 106 ate nateeba goolo 49.Bobby yazalibwa October 11 1937 mu kibuga Ashington Northumberland. Yasamba omupiira gwe ogwasembayo ku timu yeggwanga nga alina emyaka 32 mu 1970 mu world cup nga bungereza awangulwa German ku kwota final 2-3 eranga yagibwamu mukitundu ekyo kubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *