Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among yavudde mu mbeera n’ayambalira Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu gwa asabye alye ssente ze zeyaggye mu basiyazi naye aleme kukozesa Palamenti okubuzaabuza nokuwudiisa abantu okubajja ku Mulamwa.Sipiika okuva mumbeera kivudde ku nsimbi obukadde kikumi (100) ezigamba nti zigenda kuweebwa buli mubaka ng’akasiimo olw’okuyisa embalirira y’ennyongereza ya obuse (Trillion) 3.7 Era nga bino byayogeddwa Pulesidenti wa NUP mukulabula ababaka be obutazikiliza kuba bajja kuba balidemu olukwe ababalonda.