Robert Kyagulanyi Ssentamu agambye nti Enkungaana nga NAM ne G77 eziri mu gwagga tezijja kugasa bana Uganda .

Pulesidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert kyagulanyi Ssentamu ekili kumwanjo okuvuganya gavumenti agambye nti Enkungaana nga olwa mawanga Ganampawengwa (NAM) ne G77 Eziri muggwanga nga bwezitagenda kugasa bana Uganda mu nkulakulana,nemubyobufuzi ebiliwo. Kyagulanyi Ssentamu ayongeddeko nti abantu bafiliddwa emilimu gyabwe nadala abali kunguddo ezikozeseddwa abagenyi n’abakungu ba NAM,Mungeri yemu avumilidde obumenyi bwamateeka obukolebwa abakuma ddemba mukiseera kino nadala mukibuga Kampala wamu ne ekitongole kya Kampala capital city Authority (KCCA) akisengudde abantu mu bifo byabwe,Bobi wine era akunze bannayuganda okwoleka ebibanyigiriza eri abakungu abazze okwetaba mu lukungaana lwa NAM bategeere ekituufu ekiri mu ggwanga lyebazzeemu. Asabye bana Uganda bakozesa buli kkubo erisoboka nga okuteega abakulu abo mu kkubo gyebanaayita nga babawanikira ebipande kwebawandiise obubaka bw’okwemulugunya wamu namakubo amalala,bino byona ebyogeledde mu lukungana lwabamawulire olubadde ku kitebbe kya FDC ekiwayi kyekatonga olwa tegekeddwa abibiina byona ebivuganya gavumenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *