PulezidentiMuseveni akakwasiddwa obwa Ssentebe w’omukago gwa (NAM)

Pulezidenti Kaguta Museveni amangu ddala nga yakakwasibwa obwa Ssentebe bw’omukago gwa Amawanga ganampawengwa(NAM ) wali ku Speke Hotel e Munyonyo akolokose amawanga g’abazungu agakaka amawanga ga Africa okugoberera buli kyegaagala bwategeezezza nti bano tebassa kitiibwa mu nfuga ya Demokulaasiya kyokka nga bo bennyini befuula abagigoberera.
Museveni agamba nti omuntu assa ekitiibwa mu Demokulaasiya tayinza kukaka balala kukola by’ayagala kubanga awo aba abafudde baddu.
Pulezidenti Museveni awadde abazungu amagezi nti bwebaba baagala amawanga amalala gabagondere,eby’okutiisatiisa bandibadde babivaako amaanyi nebagateeka mu kubeera eky’okulabirako ekirungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *