Pulezidenti w’eggwanga lya Gabon Gen.Brice Oligui Nguema eyakawamba obuyinza nga abujja ku Ali Bongo mu mwezi ogw’omunana omwaka guno ogwa 2023,aggyewo omusaala gw’abadde afuna nga Pulezidenti nategeeza nti agenda kusigala nga afuna omusaala gwa mulundi gumu gwokka nga gwe gw’omuduumizi w’amagye g’eggwanga mu kaweefube gwaliko okuzza engulu eby’enfuna by’eggwanga lye.
Takomye okwo atemye n’omusaala gw’ababaka ba palamenti,n’aggyawo n’akasiimo abakungu ba gavumenti kebabadde bafuna buli lunaku nga ensimbi zino agambye bagenda zikozesa okukola ebintu ebirala ebizimba eggwanga.
Ono yomu ku kaweefube gwakolsla okukakasa bannansi nti ekyamuleeta mu buyinza kuggyawo bibanyigiriza wabula sikweyagaliza..