Pulesidenti wa America Joe Biden awandiikidde akakiiko ka United States of America legislative body nga ayagala basazeemu endaggano ya Uganda eyokusubulugana nga bayita mu mukago gwa African growth and opportunity act (AGOA) kunsonga ezekusa kukutabangula eddembe lyebuntu mu Uganda, Biden ebaluwa yagiwandiikidde omukubiliza wa senita ya America ku Monday nga yemulugunya kumawanga ga agali kulukalu lwomwana womuddugavu agatabangula eddembe lyobutu okuli Uganda,Gabon, Niger ne Congo era endagano gyebabadde nayo yakukoma mu Gatonya wa 2024.
Kino kidilidde oluvanyuma lwa pulesidenti Museveni okuteeka omukono ku teeka eri kugila omukwano ogwebikukujju mu Uganda mu myazi gwo kutaano wamu ne abantu abatebelezebwa okubuziibwawo mu 2021 mukaseera ko kulonda nga ne mukaseera kano tebamanyiddwako mayitire.