Pulesidenti Museveni agambye Uganda tusobola bulungi okwebezaawo awatali buyambi bw’abazungu.

Pulezidenti Kaguta Museveni agumizza bannayuganda nga Uganda bwesobola bulungi okwebezaawo awatali buyambi bw’abazungu abatakkanya nayo naddala singa bagoberera by’abagamba omuli okwetaba mu by’obufuzi nga tebagoberera byebafaanaganya wabula nga bagoberera byebeetaga kino kizewo oluvanyuma lwa mukulu munne owa America Pulesidenti Joe Biden okugoba Uganda mu mukago gw’amawanga agasuubulagana ne America ogwa AGOA wano Pulesidenti Museveni wayambalidde abazungu nti beewanika nnyo ate baagala nnyo okufeebya abalwanirizi b’eddembe mu Africa olw’okuba balowooza nti amawanga ga Africa tegasobola kutambula awatali buyambi bwabwe ekintu ye ky’awakanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *