A mawulire agenaku eri abayimbi muggwanga, Omuyimbi Mbaziira Deo abadde amanyiddwa nga Baby Deo Star eyayatiikirira ennyo olw’oluyimba “Kawanga” afiiridde mu kabenje mu bitundu bye Kyengera. Poliisi omulambo gwe egututte mu ggwanika e Mulago ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.