Omusango gwa Frank Gashumba ne Kitatta Ibrahim Almalik gugobeddwa.

Kkooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni mu ggwanga ki Uganda Registeration Service Bureau (URSBHQ) kigobye omusango ogwawabwa Frank Gashumba ne Kitatta Ibrahim Almalik Ssentebe wa Disitulikiti ye Lwengo mwebabadde bawakanyiza woofiisi ya Ssentebe wa Nrm era Pulezidenti wa Uganda eya office of the national chairman (ONC) etuula e Kyambogo okukozesa engombo ya “Mzee omalako Jajja tova ku main”.Kino kidilidde Denis Birungi omuwandiisi wa kkooti y’ekitongole kino, okutegeezza nti okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti bakizudde nti woofiisi ya Pulezidenti yeyasooka okukozesa engombo eno.
Kinajjukirwa nti Kitatta ne banne mu gw’omukaaga omwaka guno beekubira enduulu eri ekitongole kino nga baagala kiyimirize woofiisi eno okukozesa engombo eyo wamu n’ekifaananyi kya president Yoweri Kaguta Museveni byebali bagamba nti bebaabiyiiya nga ababikozesa babikozesa mu bukyamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *