Omubaka wa munisipaali ye Koboko, Dr Ayume Charles asabye gavumenti ayimirize mbagirawo omulimu gw’okuzimba eddwaliro lye Lubowa erisuubirwa okumalawo Tuliyooni emu n’obuwumbi 44 (1.44 trn) eza Uganda,Ono ategezeza nti kati wayise myaka ebiri okuva eddwaliro lino lwelwatandika okuzimbibwa wabula nga tewali kigenda mu maaso kyokka nga Uganda amabanja gongera kujituuka mu bulago.Bino webijjidde nga Minisita w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng asabye Palamenti okubawa obuwumbi bwa ssente zakuno 2 n’obukadde 700 basobole okulambula omulimu guno.