Hon Mathias Mpuuga nga yabadde akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti awaddeyo woofisi eri eyamuddira mu bigere Hon Joel Ssenyonyi eyakakasiddwa palamenti olunaku lw’eggulo. Omubaka Mpuuga awadde Ssenyonyi amagezi okubeera omwegendereza mu nkola y’emirimu gye omuli ne gavumenti eteekawo emiziziko akagenderere okubalemesa okubeerako nekyebaggusa mu buweereza bwabwe.