Olukiiko olw’omulundi ogwe 63 ate nga lwakubiri (2)bukya Bishop Kagodo atuuzibwa ng’omulabirizi we Mukono.

Olukiiko lw’Obulabirizi bwe Mukono ( DIOCESAN COUNCIL) olubeeramu abakiise bonna okwetolora Obulabirizi ,lutudde ku kitebe ky’Obulabilizi olunaku olwaleero mu Bishop Ssebaggala Synod Hall e Mukono.

Olukiiko luno lukulembeddwamu Omulabirizi Enos Kitto Kagodo era nga luno lwe lukiiko olw’omulundi ogwe 63 ate nga lwakubiri (2)bukya nga Bishop Kagodo atuuzibwa ng’omulabirizi w’Obulabirizi owa Mukono owo 5.

Obusabaddinkoni 12 obukola Obulabirizi bwe Mukono bwonna bukikiriddwa, Abasumba, Ababulizi, Ab’ebitongole wamu n’abakiise abalala.
Bishop Jackson Matovu ,Omulabirizi wa Central Buganda eyawumula y’omu ku betabye mu lukiiko luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *