Sipiika wa Palamenti, Nalongo Anitah Among asisinkanye akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Mariam Wangadya nga begatiddwako akulira oludda oluvuganya gavumenti Hon:Mathias Mpuuga, Hon:Abed Bwanika ne Hon Solomon Silwany okulaba butya gyebasobola okusisinkanamu abakulu mu Minisitule n’ebitongole ebikwatibwako ensonga z’ebyokwerinda mu ggwanga ku nsonga z’abantu abagambibwa okubuzibwawo 18 ababanjibwa.