Akulira oludda oluwabula gavumenti e Zimbabwe, Nelson Chamisa alangiridde ng’ekibiina kye ekya Citizens Coalition for Change (CCC) bwekitagenda kwetaba mu kulonda kw’okujjuza ebifo 15 nga byaagobwa bannyini byo mu Palamenti. Okulonda kuno kusuubirwa okubaawo nga 9 December wabula Nelson Chamisa ategezezza nga bwe batebasobola kwonoona budde kwetaba mu kulonda kuno kuba ababaka baagobwa mu bukyamu nga bbo tebayinza kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka obwekikula kino.