Buli kimu kikolebwa era tukola obutaweela okulaba nga buli kimu kidda munteeko kunjuyi bbiri oludda oluvuganya ne govumenti mu palamenti, omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa agambye nti abaddeko mu mitiingi eziwela kunjuyi zonna,abantu balabanga okuteseganya okwakasoobo, abalala balowooza nti tetulina kyetwatuseko kivamu bibala, naye nga tulina okuteseganya okujja okuvamu e bibala banaffe okukomawo mu palamenti, Thomas Tayebwa bino abitegezezza ababaka oluvanyuma lwoludda oluvuganya okuwera nga bwebatajja kudda mu palamenti Okutuusa nga ensonga zabwe zikoleddwako ezilwanilira ezeddembe ly’obuntu.