Hon Nandala Mafabi Ssabawandiisi wekibiina ki fdc atabukidde Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago bwagambye nti ono bukya yegatta ku fdc mu 2020 tawangayo wadde ekikumi okutambuza emirimu gy’ekibiina songa nga ba Meeya b’ebibuga ne bassentebe ba LC 5 basabibwa okuwangayo emitwalo 20 buli mwezi ku nsonga eyo.
Ono agambye nti yewuunya owekitiibwa Erias Lukwago ne hon Ssemujju Nganda okuba nti baatuuza ttabamiruka wabwe n’amala essaawa eziwera 5 nga tebaseguka songa enkiiko z’ekibiina kyabwe tebazituulamu kumala ddakiika 10 nga baziddukamu.