Hon Mathias Mpuuga Nsamba ono nga y’akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti akubirizza ababaka ba Palamenti okwongera okuteeka akazito ku gavumenti okutuukiriza obweyamo bwayo wamu n’okulondoola Gavumenti by’etwala nga eby’omugaso. Okwogera bino kiddiridde Gavumenti okuleeta ekiteeso ekiyimiriza mbagirawo enkola ababaka gyebabadde bayitamu okwesondangamu ssente okudduukirira abantu bebakiikirira era nga Gavumenti egamba buno buvunaanyizibwa bwayo sso ssi bwa babaka.