Ababaka ba Palamenti bawadde Hon Ruth Nankabirwa minister wa masanyalaze n’obugagga obwensibo okulaba nga banauganda bafuna ku sanyu lya mafuta mu mwaka gwa 2025,kino kidilidde oluvanyuma lwa minisita okutegeza Palamenti nti Gavumenti ne bekolaganabo bakola butaweera okulaba Uganda esigala kumulamwa gwayo obutamalako mwaka gwa 2025,kyoka ababaka basigadde bebuuza ki ekyatukawo ku kisuubizo ekyali kyakolebwa nti tulifuna ku mafuta gano nga omwozi ogwo kutano 2025 tegunagwako.
Minisita Nankabirwa era ategezezza nga omwaka gwa 2024 nga gutandiika Gavumenti yakweddiza omulimu gwokuyiingiza a mafuta ne gas mugwanga okuyita mu kampuni ya Uganda National Oil Company (UNOC) nga Kati bananyini masundiiro gamafuta namakampuni ga gas bakugulanga a mafuta ne gas ku Gavumenti, mukawefube wokulaba nga ebeyi yamafuta tepaaluka nyo nga bwegubadde..