Mao ayongende okudduulira banayuganda: Temusobola kujja museveni mu buyiinza na Kalulu.

Omukulembeze wa Democratic Party Uganda era nge ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi, Norbert Mao avuddeyo nasekerera Bannabyabufuzi abalowooza nti akalulu kasobola okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza n’abasaba okukomya amampanti bakkirize okutuula naye bateese ku magenda ge.
Bino yabyogeredde Jinja mu kaweefube ekibiina gw’ekiriko okunyweza obuwagizi nategeeza nti ekyamuleetera okukola ne Pulezidenti Museveni kiri nti bwoba oyagala okuteesa n’omuntu, mulina kutuula wamu ate nga muwuliziganya.
Okusinziira ku Mao, Pulezidenti Museveni akoledde Uganda ebintu bingi era tayinza okukkiriza maanyi ge kufa gatyo. Wano wasabidde Bannayuganda okumwegattako mu nteekateeka eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *