Kekadde abali kuludda oluvuganya okubalaga nti yadde batono naye nabo balina okuwulirwa.

Ababaka abali kuludda oluvuganya gavumenti nekumulundi guno bazemu okwekandagga nebafuluma Palamenti nga beemulugunya ku nsonga eziwerako omubadde neya bannamawulire okugaanibwa okuweereza butereevu ebigenda maaso mu palamenti wamu ne ky’abakuumaddembe ababadde basazeeko wabweru wa Palamenti wona.
Omubaka Mathias Mpuuga nga yakulira oludda oluvuganya gavumenti, ategeezezza nga bwe babadde tebayinza kugenda mu maaso na kuteesa ng’ensonga zabwe ezitateseeddwako olunaku lw’eggulo teziteekeddwa ku bilina okuteesebwako nolunaku olwaleero.
Mungeri eno bagezezzaako okusaba amyuka Sipiika, Thomas Tayebwa ensonga yabwe ekolweko wabula neyeerema kwekufuluma.. Ayogeddeko nagamba nti aba NRM bwebaba balowooza nti buli nsonga eretebwa balina kugifunamu buwanguzi, kekadde abali kuludda oluvuganya okubalaga nti newankubadde batono naye nabo balina okuwulirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *