Benjamin Netanyahu nga ye Ssaabaminisita w’eggwanga lya Israel,agaanye eby’okutuula atesese n’akabinja ka ba Hamas akali mu luwanaanda lwe Gaza,ku by’okukomya olutalo luno nga bwebabadde basaba. Netanyahu ategeezezza nti okuwangula olutalo luno tekiyinza kumutwalira wadde omwezi nga n’olwensonga eyo eby’okuteesa sibyaliko. Abantu abasoba mu 27,700 beebakafiira mu lutalo luno