Prof.Dr Lawrence Muganga Ono nga ye amyuka Ssenkulu wa Ssettendekero wa Victory University agamba gavumenti esaana eggyewo ebigezo by’akamalirizo ebikolebwa abayizi b’ekibiina eky’omusanvu (P.L.E) ne siniya ey’okuna ebya (U.C.E) agamba nti bino bikonya abaana kubanga bibabaleetera okukwata ebintu obukusu nga baagala okuyitira waggulu naye nga bamaliriza tewali ky’amakulu kyebayinza kukola.Prof. Muganga agamba abayizi bandibadde batandika kubuuzibwa ku mutendera gwa disitulikiti nga buli omu alaga kyasobola okukola era naasaba wateekebwewo n’amasomero mu buli disitulikiti nga gazimbiddwa ku musingi guno. Ono agamba kino kijja kuyamba okukuza eby’enfuna by’eggwanga n’okukyusa embeera z’abantu.