Ssaalongo Erias Lukwago nga ye Pulezidenti wa FDC ekiwayi kye Katonga alayidde nti kikafuuwe FDC okwegatta ku NUP kubanga tebasobola kwetikka kibiina kiramba nebakiwaayo mu ngeri eyo.Lukwago agambye wadde kiri kityo, bajja kukolagana ne NUP ku nsonga ez’enjawulo naddala ezo zebakkiririzaamu ku njuuyi zombi. Ssaalongo Lukwago ayanjudde n’enteekateeka zaabwe ez’omwaka guno nga mwemuli n’olukugaana gaggadde lwebategese mu bitundu bye Jinja nga bino byona byakutandiika wiiki ejje.