Kaliisoliiso wagavumenti Betty kamya ategezezza nga bwebajje enta mu misango kuyaliko Ssenkulu wa ekitongole ekikuma omutindo mu ggwanga ki (UNBS) David Iivingstone Ebiru, omumyuka wa kaliisoliiso wagavumenti Ochan Patricia ategezezza nga kino ekikoleddwa tekigyawo kilubililwa kyabwe ekyokulwanisa enguzi no gikomya, wabula kino kitasiza nnyo ensimbi zomuwi w’omusolo ezandisasuddwa singa gwebabadde bavunaana David Livingston awangula omusango guno.
Agenze maaso nayanukula bannayuganda abaagala anyonnyole ekyamuviiriddeko okwejjereza eyali ssenkulu wa UNBS ku misango gy’obulyake,nti ye tagenda kwenyonnyolako kubanga ssemateeka awa woofiisi yabwe ebeetu okukola okusalawo kwona awatali kwenyonnyolako eri muntu yenna,era agambya nti Ebiru ayinza n’okuddizibwa mu woofiisi naddamu okukola emirimu gye singa minisita w’ebyobusuubuzi abulwa obujulizi obumuluma ku misango egiri mu Kkooti.