Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga lya Burundi Martin Niteretse alangiridde nga Bannansi b’eggwanga lya Rwanda bwebalina okwamuka Burundi era nga Burundi egenda kuggalawo ensalo zaayo ne Rwanda olw’okuteerebera Bannansi ba Rwanda okubeera n’akakwate ku kabinja k’abatujju akabatigomya aka RED-TABARA Gyebuvuddeko Pulezidenti wa Burundi H.E Évariste Ndayishimiye yalumiriza gavumenti ya Pulezidenti Paul Kagame owa Rwanda okuwagira n’okuvujjirira akabinja k’abayekera akamanyiddwa nga RED – Tabara akasuza gavumenti ku bunkenke.