Embwa ebadde esinga obukadde mu nsi yonna emanyiddwa nga Bobi efudde. Embwa Eno ebadde eweza emyaka 31 ne naku 165 ekitegeza emazeeko ennaku zona awamu 11,478 ekintu ekitatera kulabika ku buwangaazi bw’embwa, Guinness World Records eno yagilangilira mu February womwaka guno nga esinga obuwangazi munsi yona nga ebadde ekyasembyeyo yafiira ku myaka 29 nga yali ya mu Australia okuva mu 1939,Embwa eno ebadde ewangaalira mu Portugal nga ya musajja amanyiddwa nga Leonel Costa.Ono agamba nti ebimu ku biwangazizza embwa Eno kwekuba nti ebadde mu ddembe nga tesibwangako ku lujeggere bukya azalibwa ate nga agiwa emmere nga abantu gyebalya. Kyewunyisa ekikka ky’embwa Eno Bobi kiteera okuwangala emyaka 12 ku 14 ekyewunyisa Eno yasukawo.