Olutuula lw’akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa n’amateeka olwabadde lutegekeddwa olwaleero okuwuliriza ensonga z’omubaka Zaake Francis Butebi ne Hon.Ssuubi Kinyamatama lugudde butaka nga kivudde kukugobebwa kwa Zaake okumala entuula 3 nga takiika muntula za palamenti. Omubaka Zaake owa Nup y’omu ku babaka 5 amyuka Sipiika Thomas Tayebwa beyafuumula nga tebakkirizibwa kulinnya kigere mu Palamenti lwakusiiwuka mpisa gyebuvudeko.