Dr.Monica Musenero agobeddwa mu kakiiko ka palamenti akalondoola embalirira ye ggwanga.

Dr.Monica Musenero nga Ono ye Minisita wa sayansi ne tekinilogiya agobeddwa mu kakiiko ka palamenti akalondoola embalirira oba budget committe gyabadde agenze okubuulira ababaka ku nkola ya sayansi mu ggwanga.
Ababaka bamutegezezza nti essaawa eno akakiiko kano kalina kutunula mu ntemaatema ya mbalirira ya ggwanga ssikubasomesa bya sayansi kubanga yabibabuulira dda bweyalabikako eri akakiiko ka palamenti ak’ensonga za pulezidenti.Ababaka bongedeko nti kibadde kimenya mateeka minisita okulabikako eri akakiiko kano ng’omuntu so nga ensonga za bajeti yazitegeeza dda akakiiko akamutwala ak’ensonga za pulezidenti.Wadde nga Musenero yewozezzaako nti tabadde ku byambalirira, ababaka tebamuwulirizza nebamulagira afulume.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *