Basentebe b’ekibiina kya FDC mu disitulikiti ez’enjawulo bagaanye okuzzaayo sitampu z’ekibiina.

Ssaabawandiisi wa FDC Nandala Mafabi owekiwayi kye Najjanankumbi, yafulumizza ekiwandiiko ekiragira ba Ssentebe b’ekibiina mu disitulikiti zonna okuwaayo sitampu z’ekibiina saako woofiisi bunnambiro era nga kino balina okukikola obutasukka nga 17 omwezi guno nga omuntu yenna anagaana okukituukiriza omukono gw’amateeka gwakumukolako.kati olutalo mu bakulembeze b’ekibiina ki FDC lubalusewo olw’abamu kuba Ssentebe b’ekibiina mu disitulikiti ez’enjawulo okugaana okuzzaayo sitampu z’ekibiina n’okuwaayo woofiisi mwebabadde bakolera emirimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *