Omukulembeze w’eggwanga era omuduumizi w’amagye g’eggwanga ow’okuntikko Yoweri Kaguta Museveni afulumizza abasirikale ba LDU bayite bamukuuma byalo 4212 mu disitulikiti ye katakwi nga bano batendekebwa bulungi ate mubukugu obwewagulu.
Bano bakuutiddwa okukola obutaweera nga bakuuma n’okunyweza emirembe egyatwala president Museveni ne banne munsiiko okununnula eggwanga.