Amagye ga Israel garagidde bannansi ba palesitayini okwamuka Gaza mubwangu.

Amagye ga Israel garagidde bannansi ba Palestine abasuuka mu kakadde kamu mu emitwalo kumi okwamuka Gaza mu bwangu ddala bagende bagire nga bewogomako mu bitundu by’amaserengeta. Okusinzira ku magye gano, bagala abantu okwamuka ekitundu ekyo mu bbanga lya ssawa 24 zokka.Amagye gategeezezza nga bwe gakasula bomu 6,000 eziwera tanni 4,000 mu kibuga kye Gaza okuva ku Saturday ewedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *