Christiano Jr ow’emyaka 13 eyazaalibwa mu June wa 2010,Mutabani wa Christiano Ronaldo atadde omukono ku ndagaano ne kiraabu ya Al-Nassr FC eye Saudi Arabia omuzannyira kitaawe eranga wakuzannyira ttiimu y’abali wansi w’emyaka 15.
Ono agenda kwembala omujoozi nnamba 7 nga kitaawe gw’ayambala nga wakutendekebwa nga n’abali wansi w’emyaka 15 so si nebanne ab’emyaka e 13.Christiano Jr Ono y’omu kubaana abataano beyazala era nga azanyiddeko mu akademi nga Real Madrid, Juventus ne Manchester United nga kilabu zino taata we yazizanyilamuko.