Abya babaka ba NUP abalya mululime nemuluzise Mpuuga ebijjuliza Pulinsipo.

Hon Mathias Mpuuga nga yakulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, asabye abantu bonna abamubuuza ku bigambo omukulembeze w’ekibiina kya National unity platform NUP kubyeyayogedde nga ali ebweru we ggwanga mu Bungereza nga bwewaliwo ababaka abali mu kibiina kye abakolera gavumenti ya NRM nga yemu kunsonga lwaki baayisa etteeka eritangira ebisiyaga abasabye okubuuza nnyini kubyogera kuba yamanyi ekituufu kyeyabadde ategeeza..
Omubaka Mpuuga asabye buli atali mumativu ku nsonga eyo alindilire Pulezidenti w’ekibiina kya NUP Kyagulanyi Ssentamu akube olukung’ana lwa bannamawulire bamwebuulize ekibuuzo ekyo kubanga naye teyategeera kyeyali ategeeza, nga kati tasobola kunoonyereza ku Pulezidenti w’ekibiina ekimutwala era agambye mu bbanga eritali lyawala ejja kuvayo ayogere kunsonga eno.

#mpuuga #Bobiwine

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *