Ab’oludda oluwabula gavumenti sibaakuddayo okutuusa nga Alipoota ya Gavumenti efulumiziddwa kukiwamba bantu.

Ab’oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti bakakasizza nti bagenda kufulumya akatambi akalimu obujulizi bwebakungaanyizza ku bantu 18 abaabuzibwawo mu biseera byokulonda ne mu biseera bino nga kuwedde,era bagambye nti newankubadde Sipiika abasisinkanye enfunda eziwera babimalirize, tebagenda kupondooka eranga n’olunaku lw’eggulo tebaalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti nga bagamba nti ssibaakuddayo okutuusa nga gavumenti evuddeyo ne alipoota ekwata ku kiwamba bantu n’okutyoboola eddembe ly’abantuabantu, wetwogelera nga Palamenti egenzeko mu lusiilika paka nga 15 November.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *