Abayizi ba nsomereo lye Ntale erisangibwa e mbarara abasoba mu 205 aba S.6 bagobeddwa ku ssomero okumala ebbanga eritali ggere, ensonga ya kusiwuuka mpisa nebonoona ebintu bye ssomero,nga bawakanya ekyokugobwa kwa munnaabwe eyakwatibwa nesimu ekintu ekimenya amateeka gesomero, Ebimu ku byonooneddwa kuliko ekikomera ky’essomero, kkamera murengera wala, payipu z’amazzi n’ebirala.