Abasomesa ababadde batunda ebigezo bye PLE basindikiddwa ku alimanda e luzira.

Abasomesa 6 okuli Daniel Oleja, Micheal Ijalla, Tendo Lukyamuzi, Henry Mirembe Nasser Ssekandi ne Emmanuel Okechi abakwatibwa gyebuvudeko basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 30 omwezi guno nga bano basangibwa n’empapula za PLE ze babadde baguza amasomero mu Kampala nga bagamba nti uneb zetegese okuwa abayizi be ky’omusanvu omwaka guno.Bano bakwatibwa abakessi b’ekitongole ki UNEB nga bayambibwako poliisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *