Col. Edith Nakalema Akulira Akakiiko akalondoola n’okukuuma bamusigansimbi mu ggwanga aka State House Investors Protectorate Unit ategeezezza nga bwe bagenda okukola ekisoboka ye n’akakiiko okulaba nga batereeza erinnya ly’akakiiko kano eritiddwa ennyo abantu bano, abagambibwa okwenyigira mu kubuzaabuza bamusigansimbi abajja mu ggwanga nebakomekkereza nga babanyaze wamu n’okubalemesa okutandikawo emirimu.
katandise okunoonyereza ku bakungu mu gavumenti nga Kizuuliddwa nti abanyaga bamusigansimbi bano babasindikira emmotoka ez’ebbeeyi ezibanona ku kisaawe nezibatwala mu zi wooteeri gye bakutulira omupango gwabwe ne babanyaga.