Abantu abasoba mu 493 bebaakafa mu Palestine.

Okusinziira ku minisitule y’eby’obulamu mu Palestine abantu abasoba mu 493 bebaakafa era nga nkumu nankumu bebakaafuna ebisago okuva Israel lweyatandika okukola obulumbaganyi bwa bbomu ku Palestine, mu ssaawa 3 zokka enfo eziwera 130 zezikubiddwa era nga ennyonyi enwaannyi z’ezikoze obulumbaganyi buno.Wabaddewo obulumbaganyi bw’ennyonyi obukoleddwa Israel ku nkambi y’abanoonyi b’obubudamu ey’eJabalia mu luwannanda lw’eGaza leero.
Mu mbeera y’emu Ssabaminisita wa Isreal Benjamin Netanyahu agambye Pulesidenti wa America Joe Biden nti Israel terina kyakusalawo kirala okuggyako okukola obulumbaganyi mu kitundu ky’eGaza,mu kino tebalina kuteesa kwonna era bbo balina okulumba betaaga kukkakkanya embeera eno.Agali mu nkuubo galaga nti Pulesidenti wa America Biden tawakanyizza mukulu munne mu kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *