Abalya sityudiyo ya bayimbi bubakeredde.

Omubaka Bashir Kazibwe mbaziira owa kawempe South asabye minisita w’ekikula ky’abantu n’obuwangwa aveyo anyonnyole butya abayimbi 2 okuli Sophie Nantongo ne Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr. Tee bwe babba sutudiyo ye abayimbi ayazimbibwa gavumenti okuyamba banabitone bano basobole okukoleramu enyimba nga bawayo akasente akatono.

Mu 2019 gavumenti yakola sutudiyo ekwata amaloboozi e Mengo-Kampala abayimbi bona gyebali balina okugenda bakolenga enyimba era basasuleyo obusente obutono 100,000 era nekwasiibwa Sophie Nantongo ne Dr. Tee wabula Kazibwe agamba amawulire gebafuna abayimbi tebasobola ku kozesa sutudiyo eno bulungi songa sente za gavumenti yeyazitekamu Kati bebuza obanga y abayimbi bano babiri oba ekyali ya gavumenti obanga gavumenti yagivako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *