Ababaka ba Palamenti abali ku ludda oluwabuzi beekandazze ne bafuluma Palamenti nga bawakanya okukwatibwa kw’abakulembeze n’abawagizi baabwe n’okusibibwa okulabise entakera, bano bagamba nti ebikolwa by’abakuumaddembe ebyeyolese ku lunaku lw’ameefuga egyo byabadde biswaza nga tebasobola kuteesa nga bangi bakyali makomera n’abalala nga tebamanyiddwa gyebali