Abaata abalambuzi e kasese batiddwa.

Eggye lya UPDF Uganda peoples defense Forces nga lyegase wamu ne SFC ne marine basobodde okukola ebikwekweeto ku bajambula ba ADF abaata abazungu abalambuzi gyebuvuddeko e kasese era batiiddwa, Okusiinzira ku mumyuka womwogezi wa majje Akiiki Deo agambye nti babadde bawondera abayekera bano eranga basse 11 okubadde nabaata abalambuzi ababiri, abayekera bano babalumbye mukiro ky’olwokubiri nga 31 October 2023 ku Kayanja Landing Site kumpi ne Lake Edward in Kasese District. Awabadde obulumbaganyi kunsalo ya Uganda-Congo ze kilomitta 360 okuva mu kibuga Kampala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *